Bya Ritaha Kemigisa.
Police mu kamapala etegeezeza nga bwekutte amasimu 150 agagambibwa okubibwa mu Kampala n’emiriraano
Ayogerera police mu uganda Asan Kasingye atubuulide nti kino ekikwekweto kigenderedwamu kumalawo buzi bw’amisango obubadde bweyongedde enyo mu kampala wano
Ono agambye nti mu kaweefube ono abantu 15 bebakakwatibwa , wabula nga kawefube w’okuyigga abalala akyagenda mu maaso.