Skip to content Skip to footer

Abasawo basalawo leero ku ky’okwekalakaasa kwabwe.

Bya Ritah Kemigisa.

Bbo abasawo abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association olwaleero lwebagenda okuwayaamu nebanaaabwe okuva mu gwanga lyonna basalawe oba baakusigala n’entekateeka zaabwe ez’okwekalakaasa.

Kinajukirwa nti abakulu bano nga 9th baatula mu tabamiruka nebakaanya nti bwezikoona nga 6th  November bakwekalakaasa singa government tekola ku nsonga zaabwe ezibasiiwa.

Twogedeko ne Dr. Brian Kasagga nga ono yayogerera bano nagamba nti bazze basisinkana abantu ab’enjawulo okuli ne president kale kw’ekusalawo okusooka okutegeeze banaabwe ensonga w’ezituuse nga tebanatandika kwekalakaasa.

Ono agamba nti baludde nga baagala enyongeza ku musaala, obusiimo, okubateera ebikozesebwa mu malwaliro n’ebirara, kale nga wano webagye obusungu obubaleetedde n’okwagala okuteeka wansi ebikola  singa government yeefula ky’esirikidde.

Kati ono agamba nti olutuula lwa leero bagenda kukaanya kyebazaako nga bali wamu.

Leave a comment

0.0/5