Bya Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero ekibiina kya NRM lwekitandika okutabaala egwanga nga kyebuuza ku bantu ku nsinga y’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Ekiwandiiko ekyatuwerezedwa omwogezi wa NRM Mr Rogers Mulindwa,kiraga nga ssentebe w’ekibiina kino era president we gwanga YKM bweyalonze abantu beyesiga okukulemberamu kaweefube ono mu bitundu eby’enjawulo.
Abagabiddwa bagenda kutabaala amasaza ga uganda 17 era nga amyuka ssentebe wa NRM Al-Hajji Moses Kigongo agenda kutabgala etuntundu lye masaka – Greater Masaka Sub Region.
Amyuka ssabawansdiisi wa NRM Richard Todwong, agenda Acholi region, Rose Namayanja ,Godfrey Nyakana ne Hassan Galiwango bali wano mu Kampala, omukulu Abdul Nadduli yakulembedemu abagenze mu Greater Luwero ne Mukono , songa ye Jim Muhwezi ne ssabaminister Ruhakana Rugunda bagenda kutabaala Ankole ne Kigezi.
Kinajukirwa nti bano webagendedde mukwebuza nga kko akakiiko ka parliament akakola ku by’amateeka akakulirwa omukulu Jacob Oboth kagenda mu maaso okuwulira ebirwoozo ku nsonga eno .
