Bya Ruth Anderah
Owa boda boda agambibwa okwefuliira omusabazeewe munansi wa Bungereza namusobyako aleteddwa mu kkooti n’asomebwa omusango.
Kasadha Falid yaasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo mu kkooti enkulu mu Kampala nasomera omusango wabula nagwegaana.
Kigambibwa omukyala ono omuzungu, Kasadha yamusobyako nga May 18th 2018 e Kawanda Nakyesanja zone mu district ye Wakiso.
Oludda oluwaabi lugamba nti omukyala ono yapangisiza owa boda okumuzaayo mu maakage e Bunga ng’ava ku kabaga kamazalibwa ga mukwano gwe , naye byamusobera ng’amuvuga amutwaala walala, okukakana nga amusobezaako.
Kati omulamuzi ataddewo olunaku lwa December 3rd atandike okuwerenemba n’omusango.