Skip to content Skip to footer

Ababaka abanakkiriiza obukuumi baakuboolebwa.

Bya Ndaye Moses.

Ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa okulya enguzi bisabye abalonzi okutandika okuboola ababaka bonna abagenda okukiriza okuweebwa abakuumi nga omukulembeze we gwanga bwayagala.

Kuno okusaba kukoleddwa akulira ekibiina ekya Anti-corruption coalition Cissy Kagaba nga agamba nti kino ekiteso kikyamu, era government egwana etekebwe kuninga ensonga eno egiveeko.

Ono agamba nti omuwi w’omusolo anyigirizibwa  olw’omusolo omungi ogumugibwako, kale nga okumwongera omugugu gw’obukuumi bw’ababaka kigenda kuba kisusse.

Kati ono agamba nti singa government esigala kukino, abalonzi bagwana banyiige batandike okuboola ababaka baabwe.

 

Leave a comment

0.0/5