Bya Ben Jumbe.
Minister akola ku by’ensimbi Matia Kasaija alabudde abakola ogw’okubala ebitabo bya government okwewala okutuula ku mabanja ekituusiiza ne government okulemwa okugasasulwa.
Ono okwogera bino abadde wano ku tabamiruka w’abakola mu banka , nga eno gyasinzidde nagamba nti mu mwaka guno government yatadde kubbali ensimbi obuwumbi 735 nga zino zakusasula mabanja.
Ono agamba nti bano balina omuze ogweyama nga tebanamanya wa gyebagenda kujja ssente, okukakana nga baleetedde government emitawaana
Kati ono ategeezezea nti omubalirizi w’ebitabo yenna anaagenda mu maaso n’okweyisa mungeri etagwana, wakugobwa.