Bya Ruth Anderah
Olunaku olwaleero ssabapolisi we gwanga Martin Okoth Ochola alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku byetaka, okukubaganya ebirowoozo ku butya obuvuyo ku ttaka gyebuyinza okugemwamu, nokumalawo okulwanagana, okwekuusa aku ttaka.
Munamateeka wakakiiko Ebert Byenkya, agambye nti ono azze kubayambako kusalira wamu magezi kungeri entuufu enkayana zettaka gyeziyinza okumalalibwawo.
Ensisinkano eno tebadeemu banamawulire, wabulanga bwafulumye tutegeezeddwa nti yeyamye nokuwa obukuumi eri eyali ssabaminiter wa Tooro Steven Irumba ngono alina enkayana ku ttaka lye Kyaka.