Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu Kampala etegeezeza nga bweyakakwata abantu 4 ku bigambibwa nti bano babade benyigira mu kubba emmotoka.
Bwabadde eyogera ne banamawulire, Luke Oweyesigyire ayogerera police mu Kampala n’emiriraano agambye nti abakwatiddwa kuliko Lutaaya Muhammad ne Mafaabi Yahaya nga bano bebebade baduumira ekibinja kino.
Mu muyiggo guno emotoka 8 zezakakwatibwa mu bbanga erya wiiki bbiri, ngokusinga zagiddwa mu Ndeeba, Nansana, Lungujja, Namanve nawalala
Ono agamba nti ekibinja kino kigenda kutwalibwa mu kooti mu bwangu dala.
