Abasawo bakizudde nti omuntu okwebaka nga tayambadde kagoye konna kimuwa otulo otujjude emirembe ate kikendeeza n’endwadde z’ensusu.
Bino bizuuliddwa ab’ekibiina ekinonyereza ku bikwatagana n’okwebaka mu amerika ekya National Sleep Foundation
Dr Sarah Brewer agamba nti okwebaka obuswa kikuuma omubiri nga tegulina bbugumu olwo omuntu neyebaka bulungi.
Mu ngeri yeemu era abasawo bagamba nti okwebaka obuswa kiyamba okugoba obuwuka naddala mu bitundu by’ekyama kuba biba biyisa ku mpewo
Abasawo bamalirizza nga bagamba nti kino era kiyamba okukuuma omukwano wakati w’abagaalana.