Bya Samuel Ssebuliba.
Amajje ge gwanga lya uganda agalwanira wansi wa Amisom mu somalia gaasabiddwa okukuuma empisa, kko n’okugoberera amateeka g’eKinamajje gonna.
Kuno okusaba kukoleddwa omuduumizi wamajje aga UPDF Gen David Muhoozi bweyabadde asiibula ekibinja ky’amajje ekigenze okukuuma mu Somalia ekya Battle Group 25 ne United Nations Guard Unit , nga bano bagenze kukolera wansi wa kibiina ky’amawanga magate .
Bweyabadde ayogerera kumukolo guno ogwabadde wano e Singo, Gen Muhoozi yagambye nti obulamu mu somalia sibwakuwumula, nakucakala, kale buli mujaasi agenze agwana akole ekimututte, ate akomewo nga mulamu.
Ekibinja ekino ekya Battle group 25 kigenda kuduumirwa Col Paul Muwanguzi nga amyukibwa Lt Col CK Asiimwe , songa aabagenda okukuuma wansi wekibibiina kyamaanga amagatte bakuduumirwa Col Stuart Agaba amyukibwe Maj Edward Mugish
