Amawulire

Ebigezo bifuluma essaawa yonna

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

Examinations new

Essaawa yonna okuva kati ekitongole ky’ebyebigezo kyakufulumya   ebyavudde mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo eby’omwaka oguwedde.

Abayizi abasoba mu mitwalo 60 okuva mu bifo 3000 bebatuula ebigezo bino nga era banji okusinga ku batuula mu 2013 n’emitwalo egisoba mu 2.

Ssabwandiisi w’ekitongole kino  Mathew Bukenya agamba minisita w’ebyenjigiriza y’abakkirizza okufulumya ebigezo bino oluvanyuma lw’okusisinkanibwa olunaku olw’eggulo.

Bukenya agamba buli kyetagisa kiwedde nga era bisuubirwa okufuluma ku ssaawa nga 4 ez’okumakya.