Amawulire
Abaana 2 bagudde mu kidiba
Abaana 2 bawonye okufiira mu kidiba ky’amazzi oluvanyuma lw’okugwamu nga basena amazzi.
Susan Nambusi 8 ne Bredah Nalugo7 bawala ba Ronald Kazibwe omutuuze ku kyaalo Kibulala mu disitulikiti ye Ssembabule be banyuluddwaare nga kati bali bubi mu ddwaliro lya Kinoni health e Lwengo.
Susan Nambusi yeyasoose okugwa mu kidiba kino olwo mutowe Nalugo bweyagezezzaako okumuyamba naye n’agwamu.
Ekilungi muto waabwe Anita Nakazibwe y’abadde kumpi n’adduka ewaka n’ayita bazadde baabwe naye baasanze omulalo Posiano Katogo abaayambye okubayunula mu kidiba kino wabula nga balina obuzibu mu kussa.
.Ssentebe w’ekyaalo kino Tadeo Matovu agamba balina ekizibu ky’ebbula ly’amazzi mu kitundu kyaabwe nga kati abatuuze ebidiba babigabana na nsolo oluvanyuma lwa nayikonto ebbiri zebaalina okufa.
Ono asabye gavumenti okubasimirayo nayikonto endala okumalawo eky’abantu okugabana ebidiba n’abantu.