Amawulire

yekyaaye neyetuga

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

man hangs self

Ebadde ntiisa eri abatuuze be Kyabi e Lugusulu Sembabule, omusajja ow’emyaka 33 bw’asangiddwa ku muti ng’alebeeta.

Omulambo gwa Hassan Majwiga  gusangiddwa mu nimiro y’omu ku batuuze John Bbaale .

Muganda w’omugenzi Boniface Bwowe agambye nti omugenzi yababulako olw’okusatu oluwedde era babadde bamunoonya okuva olwo.

Bwowe agamba nti kibaweddeko bwebafunye amawulire nti ono abadde yetugira mu nsiko

Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Sserunjogi agambye nti omulambo gw’omusajja ono bagusazeeyo nebagutwaala mu ggwanika nga n’okunonyereza ku kyavuddeko omugenzi okwetta bwekugenda mu maaso.