Amawulire

Poliisi efulumizza amateeka ku bye Makerere

Ali Mivule

January 20th, 2015

No comments

MUK

Poliisi efulumizza amateeka aganagobererwa abo abalina abaana abatikkirwa e Makerere okuva olunaku lw’enkya

Abayizi 13,636 beebagenda okutikkirwa okuva nga 21 okutuuka nga 23 omwezi guno mu masomo agatali gamu nga bakufuna dipulooma, degree, n’ebirala.

Geeti enkulu eyingira ettendekero egenda kukozesebwa bazadde n’abagenyi abayite ate bbo abava e Gayaza ne Wandegeya  , bakukozesa geeti ye Wandegeya

Abava e Bwaise ne ku luguudo lwa Hoima bakukozesa geeti eri ku luguudo lwa sir Apollo Kaggwa

Aduumira poliisi y’ebidduka mu kampala Norman Musinga agamba nti kyebagaala kulaba ntia bakozesa enguudo abalala tebakosebwa.