Amawulire
Bannabyabufuzi bagula abalonzi- Alipoota
Alipoota efulumiziddwa ebibiina by’obwa nnakyeewa eraga nti bannabyabufuzi omuli n’aba palamenti basasula abalonzi ensimbi nga bangi bakozesa wakati w’obukadde 4 ne 10 buli lwebayita mu bitundu gyebalondera
Alipoota eno efulumiziddwa ab’omukago ogulondoola ensasnya mu byobufuzi ng’eraga nti abalonzi basaba ababaka ba palamenti ensimbi okumaliriza ebizibu byaabwe ng’abantu.
Akulira ekibiina kya Transparency international Uganda Peter Wandera agamba nti ssinga waliwo etteeka, bandibadde bawaaba ababaka abayiwayiiwa ensimbi
Wandera era agamba nti mu babaka bonna, abo bokka abali mu bukiikakkono beebafulumya ensimbi entono nga bbo bafulumya obukadde nga bubiri buli lwebakyalaako mu bitundu byaabwe.
Ababaka 257 beebakoleddwaako okunonyereza ku babaka 380 abali mu palamenti