Amawulire
Abavuganya balumbya akakiiko akalondesa ku Busia
Abavuganya bagamba nti ekyabawanguzza e BUsia kutiisibwatiisibwa
Munna NRM Stephen Ouma Wanyama yawangudde munna DP Deo Njoki
Nampala wa DP mu palamenti Ssebuliba Mutumba agamba nti okukola ennongosereza mu mateeka g’okulonda kulina okubaawo okulonda kwa 2016 bwekuba nga kwakubeera kutangaavu
Wabula bbo ab’akakiiko k’ebyokulonda basabazze ebyogerwa nti okulonda kwe Busia kwabaddemu emivuyo omuli okugulirira abalonzi n’okukyuusa enkalala z’abalonzi.
Omwogezi w’akakiiko kano Jotham Talemwa agambye nti bo tebanafuna kwemulugunya kwona okuva eri ebibiina ebivuganya government.