
Olukungaana olutegekeddwa owa Go Forward Amama Mbabazi luli mu lusuubo oluvanyuma lw’ekibinja kye okuweebwa amagezu okukyusa ekifo webagenda okukuba olukungaana luno
Olukungaana luno lubadde lulina kubeera ku Boma grounds e Kaboong kyokka nga poliisi ebalagidde obutalukuba
Wetujjidde mu mpewo ng’aba Mbabazi tebannaba kulangirira kifo kipya yadde ng’obudde bwa kempeyini buggwaako ssaawa 12.
Akulira ekisinde kya Goforward e Kaboong, Dan Okiror agamba nti babalagidde mu bwangu okukyuusa olukungaana lwaabwe okwewala okutataganyizibwa
Atwala poliisi ye Kaboong Peter Cherome agaanye okubaako neky’anyega ku nsonga eno.
Bbo abawagizi ba Mbabazi abawera bakwatiddwa lwakugaana kwambala mijoozi gya NRM.