Amawulire

Enkyukakyuka mu budde ya ddala

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Kuteesa back 2

Akulira olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte Sam Kuteesa agamba nti keekadde amawanga gonna gakwatagane okulwanyisa enkyukakyuuka mu budde

Ng’ayogerera mu kibangirizi kya CHOGM mw’asimbye omuti, Kuteesa agambye enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde ekutte wansi ne waggulu nga buli omu kimukakatako okugirwanyisa.

Ono agamba nti keekadde amawanga okukitegeera nti tewlai nkulakulana eyinza kubaawo ng’obudde bukyuka buli kaseera.

Yye akulira abakozi mu kibuga  Jennifer Musisi agamba nti obukulembeze bwe bwefunyiridde ensonga eno nga mu myaka etaano egijja bakusimba emiti ezisoba mu mitwalo etaano