Amawulire
Munnamwulire eyakubwa atubidde- Poliisi tennaba kusasula
Munnamawulire eyakubibwa owa poliisi n’amutuusako obuvune akyakonkomaliridde mu ddwaliro e Nsambya.
Kino kivudde ku poliisi okulememerwa okusasula ebisale by’eddwaliro gy’amaze akabanga ng’ajanjabibwa.
Andrew Lwanga asiibuddwa okuva mu ddwaliro lino enkya ya leero naye nga tebamuta kubanga bamubanja akakadde kamu n’emitwalo abiri ezirina okusasulwa poliisi.
Tugezezzaako okukuba essimu y’ayogerera poliisi mu ggwanga okubaako nekyayogera ku nsonga eno naye nga tagikwata.
Lwanga yakubwa aduumira poliisi ya Old Kampala Joram Mwesigye bweyali akwata amawulire g’abavubuka abaali bekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu wano mu ggwanga.