Amawulire
Alwanaganye ne poliisi atiddwa
E Rakai waliwo omusajja akubiddwa amasasi agamutiddewo bw’abadde alwanagana n’abaserikale ba poliisi ababadde bagenze okumukwata.
Bernard Kasumba y’atiddwa oluvanyuma lwa lwa poliisi okumuzingako akwatibwe lwakulumba muwalala wa muliraanwa we n’ejambiya n’amutematema era nga kati ye Phionah Namaganda ali muddwaliro mu mbeera mbi.
Kusumba abadde yaakayimbulwa okuva mu kaduukulu ka poliisi lwakunywa njaga nga era abadde awera okutema omuntu yena agezaako okumukwatako.
Omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino Francis Tumwesige akakasizza okutibwa kwa Kasumba n’ategeeza nga bw’abadde agezaako okutuusa obuvune ku muserikale wa poliisi.
Ono alabudde abazadde okusomesa abaana baabwe empisa nga bakyaali buto naddala obutanywa njaga kubanga ebakozesa ensobi ezibaviirako okufiirwa obulamu bwabwe.