Amawulire

Abazigu balumbye abantu- babatemyetemye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Serunjogi

Abantu abatannaba kutegerekeka balumbya abantu bana ab’omumaka agamu nebamatemateema n’enju yaabwe nebagiteekera omuliro.

Kenneth Kalongo, Geoffrey Ntezimana, Margret Tusimire ne maama waabwe  Molly Kyomugasho beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulumbibwa misana ttuku

Bino bibadde ku kyaalo Yibale mu gombolola ye , Ntuusi ng’amaka agalumbiddwa ga Benoni Kazujyuri.

Abatemu bano era babbye n’ensimbi enkalu ezitanyiddwa muwendo.

Kazujyuri agambye nti abazigu bano babadde bambadde obukokoolo nga babalagidde okuwaayo ensimbi zonna z’abadde yakatunda mu nte ye.

Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Sserunjogi akakasizza amawulire gano n’ategeeza ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.