Skip to content Skip to footer

Etteeka ku masimu lijje

phone user

Waliwo munnayuganda addukidde mu palamenti ng’ayagala esseewo etteeka erinayamba abakozesa amasimu obutabbibwa.

Justus Amanya agamba nti kkampuni z’amasimu zafuuse nzibi zenyini nga zisala n’ensimbi ku masimu agatayiseemu okwo kw’ossa n’emikutu egisakaala

Bw’abadde asisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Amanya agambye nti n’akakiiko kenyini akakola ku byempuliziganya tekayambye ba kasitoma

Kati Kadaga asuubizza ng’ensonga eno bw’agenda okugitegeeza akakiiko akakola ku by’ebyuuma bikali magezi ne tekinologiya kagikoleko.

Leave a comment

0.0/5