Amawulire

Ekikwekweto e Masaka

Ali Mivule

July 5th, 2013

No comments

youths arrested

Police e masaka ekutte abantu 32 mu bikwekweto byaabyo byokufuuza abamenyi bamateeka abeeyongera buli lukya mukitundtu kino.

Kino kiddiridde obutemu obususse nga  ne juuzi waliwo omusirikale wa police eyatibbwa munyendo nga alawuna ekitundu.

Ebikwekweto bino bikoleddwa mu bitundu bye  Mukudde, Kasaana, Market Triangle, byonna ebiri e masaka.

 

Ebikwekweto bino bikolembeddwamu RDC we Masaka chris Owori Odoi natwaala police yomu Nyendo Christine Namawuba,

Namawuba agamba obuzzi bwemisango okweyongera kuvudde ku bavubuka abanywa enjaga, okunuusa amafuta nebiragalaragala ebirala.

Police era ezudde ekuttiya zenjaga 5, ebidomola 2 ebyamafuta genyonyi, emifaliso nengoye enzibe.

Abakwaatiddwa mulimu  Julius Mwesigye,  Martin Ssemyalo,  Francis  Kabiito,  nabalala.

Bano baakugulwako emisango gyobubbi, okukwatibwa nebiragararagala , nemirala.