Skip to content Skip to footer

DP erambise Oulanya byalina okukola nga Sipiika

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyé byóbufuzi ekya Democratic Party kisabye sipiika wa palamenti omugya Jacob Oulanya nómumyukawe okukola nóbukugu bwebaba nga bakutukiriza ekibasuubirwamu.

Bano basabiddwa nókuleetawo okukwatagana mu babaka basobole okuwereza nga tebeekutuddemu.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, ssenkagale wa DP Norbert Mao, agambye nti sipiika alina okuba ku mulamwa, nga atukikako ate nga talina ludda kweyekubira wamu nokukolagana ne bitongole bya gavt ebirala.

Mungeri yemu Mao atendereza emirmu abadde sipiika mu palamenti eye 10, Rebecca Kadaga byakoze mu bbanga elye myaka 20 gyamaze nga ali muntebbe, omuli okuzaawo ekitiibwa kya palamenti, okuwabula gavt naddala ku bikwata kunsimbi, okusakira Uganda emikwano, era ababaka mu palamenti za mawanga babadde bagya okuyigira ku palamenti yawano.

Leave a comment

0.0/5