Bya Ruth Anderah,
Abawagizi békibiina kya NUP 17 kwabo 36 abali mu kkomera leero bawereddwa okweyimirirwa kkooti ya maggye e Makindye.
Bano balagiddwa okusasula akakalu ka kkooti ka bukadde 2 obwensimbi ezitali za buliwo ate ababeyimiridde obukadde 50.
Balagiddwa okweyanjulanga mu kkooti buli luvanyuma lwa nnaku 14 ate bagaaniddwa okutambula okusuka kampala.
Wabula bannabwe 18 okuli kuli Eddy Mutwe ne Nubian Lee ababadde bamiddwa okweyimirirwa okutuusa nga June 8th 2021
Kino kidiridde oludda oluwaabi okutegeeza omulamuzi Lt Gen Andrew Gutti, nti baliko byebakyanonyereza.
Bano bali ku misango gyakusangibwa ne byokulwanyisa mungeri emenya amateeka.
Bakwatibwa nga December 30 2020 mu disitulikiti yé Kalangala eyakwatira NUP bendera mu kuvuganya kubwa Robert Kyagulanyi gyeyali agenze okunonya akalulu.