Skip to content Skip to footer

Oulanyaha awandikidde abe’bibiina

Bya Damalie Mukhaye

Omukubiriza wa palamenti omugya Jacob Oulanya ategezezza nga bwamaze okuwandikira ebibiina byobufuzi byonna, okusindika amannya gababaka baabwe abalina okutuula ku kakiiko akasunsula abalondeddwa ku bifo, aka appointments committee.

Kino kitekeddwa okukolebwa ng aba minisita mu gavumenti empya tebanalondebwa.

Okusinziira ku Oulanya, wetwogerera pulezidenti we’gwanga waali wabula talina lukiiko lwaba minisita.

Kati amangu ddala ng’omukulembeze we’gwanga amaze okulonda omumyuka we ne Ssabaminisita bano, bajja kuba balina okweyanjula eri akakiiko okubasunsula.

Kati alaze obwetaavu bwokuberawo kwakakiiko kano mu budde ate mu bwangu.

Leave a comment

0.0/5