Skip to content Skip to footer

Lukwago agenda kulayira olwaleero

Bya Prosy Kisakye

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, olwaleero agenda kulayira neba kansala bwebagenda okutuula ku lukiiko lwekitongle kya Kampala Capital City Authority.

Lukwago nga yavuganya ku kaada yekibiina kya FDC yawangula okulonda okuwedde, bweyamegga abantu abenjawulo abaali mu wokaanoi luno.

Lukwago yafuna obululu emitwalo 19 mu 4,592 ate Nabillah Nagayi Sempala owa NUP nafuna obululu emitwalo 6, mu 82.

Abalala abavuganya kwaliko owa NRM Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Ragadee, yafuna emitwalo 2 mu 3,388, owa DP Charles Senkubuge yafuna 2,355.

Abalala bavuganya kwaliko Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleon, Innocent Kawooya nabalala, nga bano tebalina bibiina mwebajira.

Leave a comment

0.0/5