Skip to content Skip to footer

Abaami Balabuddwa ku Bwenzi

Bya Ivan Ssenabulya-Mukono

Abaami balabuddwa ku bwenzi nti kikosa amaka era tekiwa baana kyakulabirako.

Omulabirizi wa West Buganda, George William Kambugu yawadde obubaka buno.

Mungeri yeemu, akulira abasajja abafumbo e Mukono mu bulabirizi bwe kanisa Ya’ba Advent mu masekati g’egwanga Apollo Mubiru ategezezza nti obuvunayizibwa bwokutereza amaka bwa buli muzadde.

Bino bibadde ku kanisa ya SDA e Nasuuti mu kibuga kye Mukono bwebabadde bakuza Ssabbiiti y’abaami.

“Agasajja agafumbo agadiventyi gajja wano gagamba gagenda mu ggulu songa basiruwalira mu bwenzi buli lunnaku” akulira abafumbo bwatyo bwategezezza.

Abaweraza ba katonda bano bategezezza nti ebimu ebikolwa nga bino byebigaanye Yesu okudda ngakyawadde abaaana babantu omukisa okweneneya.

Leave a comment

0.0/5