Bya Ivan Ssenabulya
President Museveni ayongedde okungubagira eyali ssentebbe we kibiina kay Dp mu gwanga Boniface Byanyima.
Mububaka bwe obumusomedwa minister wensonga ze’bweru we gwanga Sam Kuteesa, president Museveni agambye nti omugenzi yali mpanji nenne mubyenkulakulana okuli omutindo gwebyenjigirizza byegwanga nebilala binji okubitakabanira bweyali akyali omubaka mu palamrnti ngakirira Ankole North East mu palamenti.
President Museveni ayongeddeko nti bazadde be bebalonda omugenzi okubakirira mu palamenti era teyabaswaza yali mukulembeze mulungi.
Boniface Byanyima azikidwa mu nyumba ye eyoluberera ku kyalo Ruti mu district ye Mbarara emisaana ga leero ng’abakungubazi okuva nsonda ezenjawulo bamutenderezza ng’omululembeze omulunji eyassa ejinja mubyobufuzi bwe’gwanag lyatu Ugnada.
Bwabadde ayogerako eri abkungubazi eyakwatira ekibbina kya FDC bendera mukulonda okwakagwa Dr. Kiiza Besigye omugenzi nga ye ssezaala we amwogeddeko ng’omukulembeze eyalwaniriranga omuntu wa wansi.
Besigye atusizza obubaka bwe obwokusasaiora eri egwanga nabe’nganda bonna kulwa kyayise gavumenti eyabantu.
Yye eyaliko omukulembeze wekibiina kya DP Paul Kawanga Ssemwogerere ategezeza ng’omugenzi nga bweyajjawo endowooza eyaliwo nti ekibiina kya DP kya bakatuliiki boka , kuvana yegatta ku kibiina nga Mwangirikaani eyo mu myaka gye 1960.