Bya Ivan Ssenabulya
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alaze obukulu bwobumu mu bukulembeze nti kyekijja okuyamba okumalawo ebizubi ebiruma bann-Uganda.
Buno bwebubaka bwomutanda bwabadde alabiseeko eri Obuganda wali ku mbuga ye ssaza lye Mawokota e Butooro.
Ssabasajja yakulembeddemu emikolo gyolunaku lwa gavumenti ezebitundu mu bwakabaka bwa Buganda olwomwaka guno.
Empologoma, ekalatidde Obuganda nti buvunayizibwa bwa buli Muntu obutasirikira ebyo ebinyigiriza abalala.
” Obukulembeze ku mitendera gyonna busaana okussa ekitiibwa mu Ddembe L’obuntu, temusirikanga nga waliwo ebinyigiriza abalala.” bwatagezezza.
Kati mu kusooka Kamalabyonna wa Buganda Owek CPM, ajjukiza abantu ba nnyimu okukola.
Agambye nti okwogera ennyo awatali kukola Kabaate akolekedde Buganda, era nasaba abantu okulima nokulunda naddala abavubuka.
Emikolo Gyolunnaku lwa Gavumenti ezebitundu jivugidde ku mubala, Obukulembeze Obunazza Buganda ku Ntikko, Kukola ssi Bigamba.