Bya Prossy Kisakye
Abadde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Betty Aol Ocan akubye omulanga nti wofiisi eno, eyongerwe ku ssent okusobola okukola obulungi emirimu gyayo.
Ocan nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti ye Gulu, agambye nti wofiisi eno nkulu nnyo mu kunyweza enfuga eya democrasiya mu gwanga, aye erowozebwako kitono.
Ono yabeera akulira gavumenti eyekisikirize, ewabula gavumenti eri mu buyinza.
Agambye nti balina abakugu nabanonyereza abanjewulo, naye balamereddwa okutuuka ku nkomerereo yemirimu egyenjawulo gyebabadde bakolako olwobufunda bwensimbi.
Ocan, asabye agenda okumuddira mu bigere okuteeka essira ku kulwanyisa enguzi.