
Pulezidenti Museveni agamba nti obubenje obutaggwa ku makubo buvudde ku bantu ababba obupande bw’oku nguudo
Abadde aggulawo oluguudo lwa Nyakahita-Kazo olwazimbiddwa ku buwumbi 140.
Pulezidenti Museveni agambye nti obupande buno buyamba okulambika abakozesa enguudo nga buli lwebutabaawo , kivaamu obubenje.
Okusinziira ku alipoota ezizze zikolebwa poliisi, obupande buno bukulu kyokka ng’obutabaawo , obubenje bugwaawo.
Yye akulira ekitongole ekikola enguudo ekya UNRA agamba nti mu myaka etaano egiggya, enguudo eziweza kilomita 6000 zeezigenda okukolebwa