
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi wakuddamu okukola enteekateeka empya okusisinkana abalonzi n’ekigendererwa ky’okubebuzaako ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Kiddiridde Mbabazi okukirambika nti wakwesimbawo nga tasinzidde mu kibiina kya NRM kubanga kyassaawo obukwakkulizo bungi n’ekigendererwa ky’okumulemesa
Munnamateeka we Fred Muwema agambye nti kati bakuddamu okukola enteekateeka empya etesigamye ku kibiina kya NRM.
Mu kadde kano Mbabazi tali mu ggwanga kyokka nga wakuddamu okutambula amangu ddala nga yakakomawo mu ggwanga
Omwezi oguwedde poliisi yakugira Mbabazi okutuuka mu bantu ng’erumiriza nti yali teyebuuzizza ku kibiina kye.