Skip to content Skip to footer

Abasomesa bazzeemu okutabuka

File Photo: Abasomesa nga bali mu lutuula
File Photo: Abasomesa nga bali mu lutuula

Abasomesa wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Uganda National Teachers Union UNATU bakanze nga bwebaggya okuddamu okussa wansi ebikola lwa gavumenti butabawa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya.

Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa James Tweheyo agambye nti aba minisitule baali balina okubawaayo obuwumbi 10 ng’omwezi gw’omukaaga tegunnaba kuggwaako kyokka nga kyenyamiza nti kati mwezi gwa munaana kyokka tewali kikoleddwa.

Tweheyo agamba nti yadde aba minisitule y’ebyensimbi balagira dda abakola ku by’enjigiriza okubawa ensimbi zaabwe, tewali kyebalaabye

Abasomesa bano bassa wansi ebikola ng’olusoma lw’okubiri lutandika nga bagaala baweebwe obuwumbi bwaabwe 25 ez’okwekulakulanya.

Leave a comment

0.0/5