Skip to content Skip to footer

Abe Mukono bawakanyizza ekya poliisi okubongera obudde

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze e Mukono bavudeyo okuwakanya okusaba kwa
police okugyongera obudde bwegaliramu abantu okuva ku ssaawa 48 okudda waggulu.

Amyuka omwogezi wa gavumenti Col Shaban Bantariza yabadde ategezezza nti essaawa 48 tezimala police okunonyereza naddala ku misango eminene.

Wabula abamu ku bakulembeze be Mukono okuli omumyuka wa mayor Jamadah Kajooba, omukubiriiza wo’lukiiko lwa Central Division Frank Ssekayiba nabalala bagamba nti kino kiraga
obunafu mu poliisi, nga bwebatalina bukugu.

Leave a comment

0.0/5