Skip to content Skip to footer

Abatuuze balumbye RDC nga bawakanya entekateeka ya gavumenti

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku byalo Kisowera, Kituuba, Canansite ne Mpoma
Nama mu district ye Mukono babadde nokwekalakaasa okwemirembe nga bawakanya entekateeka yekitongole kya Atomic Energy Council okuzimba etterekero lyamayengo oba radiation mu kitundu kyabwe.

Abatuuze bagamba nti kino kyabulabe eri obulamu bwabwe nga bawera nti bakugenda mu maaso okukiwakanya, nga bagala Ministry yamasanyalaze erowooze ku kitundu ekirala.

Kati batambudde okutuuka ku wofiisi yomubaka wa gavumenti e Mukono, nga bakutte ebipande okulaga obutali bumativu bwabwe nebamukwanga nekiwandiiko omuli okwemulugunya kwabwe.

Wabula RDC Nasser Munulo abasabye okukuma obuntubulamu nasubiza nti wakukwatagana nabavunanyizibwa okutuusa ensonga zaabwe.

Leave a comment

0.0/5