Bya Sadat Mbogo
Abatuuze mu kabuga k’e Buwama mu district ye Mpigi baliko omuvubuka gwebatemyeko akagere lwakumukwatira mu bubbi.
Yusuf Sseggujja owemyaka 18 kigambibwa nti asangiddwa lubona mu kiro ekikeesezza olwaleero ng’awagula amatooke g’omusuubuzi omu mu katale ke Nalutaaya, kinnya na mpindi ne police y’e Buwama weeri.
Akulira okunonyereza ku buzzi bwemisango ku police e Buwama, Josephat Mbonigaba atutegeezezza nti omukwate agguddwako gwa kubba mmere era mu kiseera kino akumibwa mu kaduukulu ka ngessaawa yonna waakutwalibwa mu kooti okuvunanwa.