Amawulire
Abalondebwa mu NRM ssibakuva mu bifo byaabwe
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM baalondebwa omukulembeze w’eggwanga ku bifo by’ekibiina ebyokuntikko ssibakulekulira bifo byabwe byebabadde nabyo.
Bino byogeddwa nampala w’ekibiina w’ekibiina kino agenda okuvaako Kasule Lumumba oluvanyuma lw’okulondebwa ku bwa ssabawandiisi w’ekibiina n’abalala 3.
Wabula Lumumba mukakafu nti olusirika lwabannakibiina lwebalimu e Kyankwanzi werunagwera omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni anaaba amaze okufuna abanabaddira mu bigere.
Abalala abalina okufunirwa abasika kuliko Richard Todwong eyafuuse amyuka ssabawandiisi w’ekibiina, Rose Namayanja nga kati ye muwanika ssaako ne Kenneth Omona omumyuka w’omuwanika.
Mungeri yeemu abakugu mu nsonga z’eby’obufuzi okuva mu ggwanga lya Ethiopia ne Malaysia baakwogerako eri abanakunganidde e Kyankwanzi wiiki eno ku nsonga z’enkyukakyuka mu by’enkulakulana by’eggwanga n’ebyebyobufuzi.