Amawulire
Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira
Namwandu wa Kasiwukira Sarah Nabikolo addiziddwaayo mu kkomera.
Nabikolo ne muganda we Sandra Nakungu kko n’omusirikale Ashraf Dedeni balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Makindye George Watyekere abasindise e Luzira okutuuka nga 3 omwezi gw’okusatu omwaka guno.
Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza bwekukyagenda mu maaso
Abasatu bano bavunaanibwa kutta mugagga Eria Sebunya eyali amanyikiddwa ennyo nga Kasiwukira
Kasiwukira bamukoona akola dduyiro kumakya okumpi n’amaka ge e Muyenga