Amawulire
Abavuganya beeyawuddemu
Waliwo ekiwayi ky’ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti abambalidde banaabwe abeebalamye olusirika lw’oludda oluvuganya olugendereddwamu okuteesa ku nongosereza za ssemateeka n’amateeka g’eby’okulonda.
Omubaka wa Bukoto East Mathias Nsubuga ategezezza nga oludda oluvuganya bwebatalina bumu kale nga kizibu okwegatta okumegga gavumenti ya NRM.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agamba olukiiko lw’abavuganya gavumenti olw’okuntikko lwakufulumya alipoota ku beetabye mu lusirika luno nga era abatalabiseeko baakukangavvulwa.
Ababaka nga 30 kwabo abavuganya gavumenti abasoba mu 60 bebalabiseeko mu lusirika luno olunaku lw’eggulo nga leero 15 bokka bebeyanjudde.