Amawulire
Omuliro Gusanyizzaawo akatale k’ e Moroto
Ebintu byabukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusaanyawo akatale akakulu ak’e Moroto mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 9 nga bukya nga era amidaala n’obuyumba bw’abasuubuzi obubadde okumpi tebulutonze.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt. Jimmy Denis Omala agamba omuliro guno gwandiba nga gwakumiddwa omuntu w’ettima naye nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza.
Omala agamba guno muliro gwakubiri mu myezi 9 okwokya akatale kano.