Amawulire
Katikkiro e Kyaggwe, alabudde ku byenjigiriza
Kamalabyona wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga avumiridde eky’abaana abayise obulungi ebigezo okwekuba mu mawulire ekisukkiridde ebiro bino.
Abadde ku ssomero lya Bishops Senior Secondary School Mukono gyeyakeredde olwaleero mu kusolooza ettofaali, nategeeza nti omulamwa omukulu eri abaana kuba kuyita kalenga okuyisa ebivulu ekisukkiridde kiba tekigwaanidde nalabula nti kino bwekitakome kigenda kukosa ebyenjigiriza.
Ajjukizza Obuganda ku nsonga Ssemasonga ng’obuyiiya nemirimu gyabantu nti byebinatwala Obwakabaka mu maaso.
Mu kutalaaga kwaleero bannabyabufuzi balabuddwa kuba buli omu obwedda akwata akazindaalo ngatandika kusaba kalulu nti tekibadde kirungi maaso ga Katikiro.
Kino omubaka Nambooze akiwakanyizza nti baleme kubetikka nga banabyabufuzi kuba ebyobufuzi si bibi wabula buba bukulembeze.
Webuzibidde ngensimbi obukadde 100 n’okusoba zezakasolozeddwa mu nnaku ebiri mu ssaza lye Kyaggwe