Amawulire
Obubenje bubiri busse 13
Abantu 10 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Juba.
Akabenje kano kagudde wali e Nisitu mu tawuni ye Nimule oluvanyuma lwa baasi ya kampuni ya Bakulu UAS 201N ebadde edda e Juba okutomeragana bwenyi ne taxi ebadde edda mu Uganda.
Ku basaabaze 14 ababadde mu taxi 10 bebafiiriddewo nga bbo 4 bakyaali mu mbeera mbi nga n’abasatu okuva mu baasi okuli munansi w’eggwanga lya Kenya n’aba South Sudan 2 bakutuseeko emikono.
Omuwendo gw’ababadde ku baasi tegunategerekeka nga n’abalumiziddwa tebanamanyika muwendo.
Abagenzi batwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Juba nga n’abalumiziddwa gyebajanjabibwa.
Akabenje kano okubaawo nga tegunawera namwezi nga baasi ya kampuni yeemu kyejje ekole akabenje oluvanyuma lw’okutomeregana ne kilukulurana omwafiira dereva wa baasi.
Bino webigyidde nga abantu 3 kyebajje bafiire mu kabenje akagudde wali e Kalandazzi ku luguudo lw’e Masaka mu disitulikiti ye Mpigi.
Akabenje kano akaaguddewo akawungeezi akayise kyaddiridde kiloole kimaggulu 10 UAQ 837Q okutomeragana bwenyi n’emmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Spacio namba UAU 341H nga ebadde eva Rakai nga edda Kampala.
Oluvanyuma kimagulu kkumi kino kiyise ku kamotoka kano waggulu nekifootola ababaddemu.
Omu ku bafudde ategerekese nga Jimmy Sseruwagi n’abalala abatanategerekeka nga era emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Gombe.
Aduumira poliisi y’ebidduka mu disitulikiti ye Mpigi Michael Duncan Ensinekweri ategezezza nga dereeva wa kiloole kino bw’ateberezebwa okubeera Musa Kasozi okusinziira ku biwandiiko byebasanze mu kimotoka kino.
Agamba akabenje kano kavudde ku kuvugisa kimama