Skip to content Skip to footer

Mulonde Museveni- Nankabirwa

Nankabirwa

Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi Ruth Nankabirwa alabudde abalonzi ku kulonda abantu abagenda okutabangula eggwanga

Ono bw’abadde ayogerako eri banna NRM e Kiboga, Nankabirwa agambye nti abantu bangi abagenda okuvaayo nga bagaala okulya obukulu kyokka nga kiri eri abalonzi okubagoba nga bakozesa akalulu.

Ono agamba nti pulezidenti Museveni ye mukulembeze yekka ayinza okutebenkeza eggwanga era ng’abantu bonna bandisimbye mabega we mu kulonda kwa 2016

Nankabirwa era alumbye abo abagaala okulemesa pulezidenti Museveni okwesimbawo nga besigama ku myaka

Leave a comment

0.0/5