Amawulire
Etteeka ku Bisiyaga likomewo
Disitulikiti Kadhi w’e Masaka asabye ababaka ba palamenti okwanguya okuzza eteeka ku bisiyaga mu palamenti baddemu okuliyisa.
Sheik Swaibu Ndugga agamba yadde nga waliwo abantu b’olubatu abaalisimbira ekkuuli olw’ebigendererwa byabwe, bannayuganda banji baliwagira.
Sheik Ndugga agamba nga lizzemu okuyisibwa, lyakutaasa omwana w’omuntu ebikolwa bya Sodomy ge Gomola.
Nga amwanukula, omubaka wa municipaali ye Masaka Mathius Mpuuga omusango agutadde ku njawukana mu gavumenti wabula n’ategeeza nga ababaka bwebaatandise dda enteekateeka z’okulizza mu palamenti liyisibwe.