
Ab’ekibiina kya Democratic Party bagasse ku ekeleziya okusonda ensimbi ezigenda okukola ku kukyala kwa papa wano mu ggwanga.
Omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande ategezezza nga bwebasoose okuwaayo obukadde 5 n’oluvanyuma baweyo endala.
Agamba okusonda ensimbi zino kwakukolebwa mu matabi g’ebibiina byonna.
Paapa Francis asuubirwa mu ggwanga okuva nga 27 okutuuka nga 29 November 2015.