Omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde wali e Mukono ku luguudo oludda e Jjinja
Akabenje kano kavudde ku wa Taxi namba UAT 696W abadde adda e Mbarara emotoka okumulerera ng’ayisa olwo n’alumba owa bodaboda abadde e bbali.
Omugenzi ategerekese nga Bosco Musaabi omusabaaze mu Taxi ng’alabye emotoka etagala n’abukaamu kyokka ng’ate taxi eno ezze n’emulinnyalinnya.
Afudde abadde kitunzi wa wooteri eya Ridar e Mukono.
Atwala ebyentambula e Mukono Musa Sonko akabenje akatadde ku kimama owa taxi ky’abadde akozesa mu kuvuga.