Amawulire
Sejusa abanja musaala
Eyali omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga David Sejusa abanja musaala.
Nga ayita mu bannamateekabe Michael Mabikke ne David Mushabe, Sejusa agamba kati myaka 2 nga takomba ku musaala nga ate akyaali mujaasi kale nga alina okusasulwa.
Nga ayogerako eri bannamawulire , Mabikke ategezezza nga bwebagenda okuyita mu mateeka babanje omusaala gw’omuntu waabwe kubanga teyadduka mu magye.
Wabula ye ye akola ku nsonga z’abakozi mu magye Wilson Mbadi ategezezza nga bwebasasula bakolera amagye emirimu okumala ebbanga, wabula sejusa okuva bwekiri nti tabadde ku mulimu, tasaana musaala.
Omujaasi ali ku ddaala lya General asasulwa obukadde bubiri n’ekitundu buli mwezi.