Amawulire
Katikkiro alabudde abagula abalonzi
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayega avumiridde ebikolwa by’okugulirira abalonzi wano mu ggwanga mu biseera by’obululu.
Ono ategezezza nti ebikolwa bino biviira ddala wansi mu baana nga kyetaagisa abasomesa okubatendeka obulungi bakule nga bakimanyi nti okugula abalonzi kibi era tekitwala nsi yattu mu maaso.
Katikkiro okwogera bino abadde Kyewambogo ku ssomero lya St Johns SS e Mukono mu kutikula ettofaali.
Ensimbi eziwerako zezisolozeddwa olwaleero okuva mu bitundu ebitali bimu mu gombolola ye Nakisunga, Mpatta n’awalala.