Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi ewa Kisekka bawangudde
Kkooti eragidde nti abakulembeze mu katale ka Kisekka basasule abasuubuzi olw’okumenya obuyumba bwaabwe
Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe agambye nti bano balina okusasula obukadde 55 eri abafiirwa ebintu byaabwe n’engassi ya kkooti
Omulamuzi agambye nti kkooti yali yayisa ekiragiro ekiyimiriza okusenda amaduuka ng’abakulembeze banyooma kkooti
Kati ku bukadde 55, 25 zakugenda eri abasuubuzi ate 30 zigende eri kkooti
Abasuubuzi bano era bakusasulwa ensimbi zonna zonna zebamalidde ku musango
Kyokka omulamuzi alagidde nti okuzimba akatale kugenda mu maaso olw’enkulakulana
Amawulire gano galese abasuubuzi bacacanca kyokka ng’abamu tebamatidde